Isaiah 32:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu aliba bwekwekero bwa mpewo, bwewogomo mu budde obw'omuyaga, aliba ng'omwala gw'amazzi mu nsi enkalu, ng'ekittuluze ky'olwazi olunene mu nsi enkalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo, ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga, ng’emigga gy’amazzi mu ddungu, ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu ku bo aliba ng'ekifo eky'ekiddukiro eky'okwewogomamu empewo n'okuwoneramu kibuyaga. Baliba ng'emigga gy'amazzi mu nsi enkalu ey'eddungu. Baliba ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu kitundu ky'ensi ekikaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu eri empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooyesa.