Isaiah 32:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gw'abadumi gulijjamu obwegendereza, n'olulimi lw'abanaanaagize lulirasa ebigambo ate bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera, n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulifuna okusalawo okulungi, n'olulimi lw'abananaagize lulisumulukuka ne boogera bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliggwaamu obutali bugumiikiriza, ne bakola ebiraga bwe balumirwa abalala. Era n'ababadde banaanaagira balisobola okwogera obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulitegeera okumanya, n'olulimi lw'abanaanaagize lulyeteekateeka okwogera obulungi.