Isaiah 32:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omusiru ayogera bya busiru; omutima gwe gulowooza bubi: kuyisa bya kikafiiri, kwogera bitabulatabula ku Mukama; kuleka omuyala nga taliiko k'alidde, n'omuyonta kumuleka nga talina k'anywedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusirusiru ayogera bya busirusiru, n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu. Akola eby’obutatya Katonda, era ayogera bya bulimba ku Mukama, n’abayala abaleka tebalina kintu, n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gukola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'obutatya Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okuleka omuyala nga takusiddwa bya kulya, n'okumalawo ow'ennyonta kyeyandinywedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusiru ayogera bya busiru, era ateesa kukola bibi. By'akola ne by'ayogera biba bivuma Mukama. Ye tawa mmere bayala, n'abalumibwa ennyonta, tabafunira kye banaanywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gulikola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'okuvuma Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okulumya enjala obulamu bw'omuyala, n'okumalawo ow'ennyonta kye yandinywedde.