Isaiah 32:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugobya amakubo ge gaba mabi: atetenkanya kukola bibi: kuzikiriza munaku ng'awaayiriza, ensonga z'omunaku ne bwe ziba entuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu by'omukodo bibi; akola entegeka embi okuzikiriza omwavu n'ebigambo eby'obulimba, atalina kintu ne kyasaba nga kituufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulyake muntu mubi, era ne by'akola si birungi: ateesa kuzikiriza baavu ng'akozesa obulimba, ne bwe baba nga bye basaba bibasaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ebintu eby'omukodo bibi: asala enkwe embi okuzikiriza omuwombeefu n'ebigambo eby'obulimba atalina kintu ne bw'ayogera eby'ensonga.