Isaiah 33:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zikusanze ggwe azikiriza sso nga tozikirizibwanga, ggwe omusazi w'enkwe sso nga tewabanga akulyamu lukwe! Bw'olimala okuzikiriza, naawe olizikirizibwa, bw'olimala okusalira enkwe, naawe balikulyamu olukwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zikusanze ggwe omuzikiriza ggwe atazikirizibwanga. Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala, ggwe, gwe batalyangamu lukwe, bw’olirekaraawo okuzikiriza, olizikirizibwa. Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe, balikulyamu olukwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zikusanze ggwe anyaga, so nga tonyagibwanga; era asala enkwe, so nga tebakusaliranga gwe nkwe! Bw'olireka okunyaga, n'olyoka onyagibwa; era bw'olimalira ddala okusala enkwe, ne balyoka bakusalira enkwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abanyaga sso nga temunyagibwanga, era abalyamu bannammwe enkwe nga temuliibwangamu nkwe. Bwe mulimala okunyaga, nammwe ne mulyoka munyagibwa. Era bwe mulikomya okulyamu enkwe nammwe ne babalyamu enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zikusanze ggwe anyaga so tonyagibwanga; era alyazaamaanya, so tebakulyazaamaanyanga! Bw'olireka okunyaga, n'olyoka onyagibwa; era bw'olimalira ddala okulyazaamaanya, ne balyoka bakulyazaamaanya.