Isaiah 33:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu balyokebwa okutuusa nga bafuuse nnoni; balyokebwa omuliro ng'amaggwa agatemeddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa, balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi; ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muliba ng'ebiyinjayinja bye bookya ne bafunamu cooka; muliba ng'amaggwa agatemeddwa ne gabengeyera mu muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi: ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro.