Isaiah 33:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo atambulira mu butuukirivu n'ayogera ebituufu, agaya amagoba agavudde mu bulyake, akunkumula engalo ne zitakwata ku nguzi, azibiikiriza amatu ge n'atawulira nkwe za kuyiwa musaayi, n'azibiriza amaaso galeme kulaba bibi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atambulira mu butuukirivu, n’ayogera ebituufu, oyo atatwala magoba agava mu bubbi, n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi, aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta, n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu akola ebituufu era ayogera eby'amazima; anyoomera ddala amagoba agava mu kunyigiriza abalala; eyeesammulira ddala enguzi, ateetaba mu mboozi za kutemula bantu; era atatunuulira bitasaana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi;