Isaiah 33:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyo y'alisula eyo waggulu; obuddukiro bwe kiriba kigo eky'enjazi; emmere ejja kumuweebwanga n'amazzi tegamuggwengako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu, n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi. Aliweebwa emmere, n’amazzi tegalimuggwaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo ye alituula waggulu; ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja; emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oyo ye aliba awagulumivu. Ekifo kye eky'okwerindiramu kiribeera kyekusifu ekigumu ddala ng'olwazi. Aliba n'emmere gy'alya era n'amazzi ag'okunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo ye alituula waggulu: ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja: emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.