Isaiah 33:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwo gulirowoolereza ku ntiisa: “ Omuwandiisi ali ludda wa? Eyasoloozanga emisolo ali ludda wa? Eyabalanga eminaala ali ludda wa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti, “Omukungu omukulu ali ludda wa? Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo? Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa; ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulifumiitiriza ku kutya kwe mwabanga nakwo. Abagereka omusolo n'abakessi be mwatyanga, mulisanyuka okwebuuza gye badda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa: ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo?