Isaiah 33:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, tusaasire; mu ggwe mwe mutuli essuubi. Beera maanyi gaffe buli makya, obulokofu bwaffe mu budde obw'ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama tusaasire, tukuyaayaanira. Obeere amaanyi gaffe buli makya, obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwaffe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama tukwatirwe ekisa kubanga twesize ggwe. Tukuumenga buli lukya ne mu kiseera ky'okubonaabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwabwe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku.