Isaiah 33:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tunuulira Siyoni, ekibuga eky'enkuŋŋaana zaffe enkulu. Amaaso go galiraba Yeruzaalemu, ekisulo ekiri emirembe, ensiisira eterinyeenyezebwa; erina enkondo ezitagenda kukuulibwa, emiguwa gyayo tewaliba na gumu gulikutuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe, amaaso go galiraba Yerusaalemi, ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa enkondo zaayo tezirisimbulwa, newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe; amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutunuulire Siyooni ekibuga ky'Embaga zaffe. Mulabe Yerusaalemu bwe kiri ekitebenkevu; kye kifo ekibeerekamu. Kiriba nga weema gye batajjulula ng'enkondo zaayo nnywevu tezisimbulwa ennaku zonna, n'emiguwa gyayo tegikutuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe: amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa.