Isaiah 33:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama ye mulamuzi waffe, Omukama y'atuteekera amateeka, Omukama ye kabaka waffe, y'alitulokola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama y’atuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, y’alitulokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gyetuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye ye atuteekera amateeka, Mukama ye Kabaka waffe era ye mulokozi waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola.