Isaiah 33:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiguwa gyo girebedde, tegiyinza kunyweza mulongooti, n'okuwanirira ettanga nga lyanjulukuse. Olwo walibaawo omunyago munene ogw'okugabana, n'abalema balyetwalira ku lwayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emiguwa gyo gisumulukuse n’omulongooti si munywevu, n’ettanga si lyanjuluze. Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu, n’abalala balitwala eby’omunyago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emiguwa gyabwe egisiba tegikyasobola kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe. Tegikyayinza kuwanika ttanga. Ebintu byonna eby'abalabe birifuuka munyago gwaffe omunene, n'abalema balyenyagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago.