Isaiah 33:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi bwe libwatuka, abantu badduka; bw'osituka, amawanga ne geesasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka, bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'eddoboozi ery'okubwatuka amawanga gadduse; bw'osituse amawanga gasaasaanye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'osituka n'otulwanirira, amawanga gasaasaana, ne gadduka oluyoogaano lw'olutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'eddoboozi ery'okuyoogaana amawanga gadduse: olw'okweyimusa ggwe amawanga gasaasaanye.