Isaiah 33:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunyago gwo gukuŋŋaanyizibwa nga lusejjera bw'akuŋŋaanyizibwa; baguyiikira ng'ekikuukuulu ky'enzige bwe kiyiika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento, era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya; ng'enzige bwe zigwa bwe balikugwako bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byago birigwibwako ne bifuulibwa omunyago, ng'obuwuka bwe bukuŋŋaanya kye busanga kyefiiridde, era nga n'enzige bwe zigwa ku bye zisanga mu nnimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya: ng'enzige bwe zigwa bwe baligugwako bwe batyo.