Isaiah 33:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Y'aliba ensibuko y'obunywevu mu budde bwo; enkuluze y'obulokofu, amagezi n'okutegeera; okutya Omukama bwe bugagga bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo, nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya. Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yaliba omusingi omugumu mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya okutya Mukama bwe bugagga bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mu biseera byammwe alireetawo obutebenkevu, n'ataasanga abantu be, era n'abawanga amagezi n'okumanya. Obugagga bwabwe obukulu buli mu kutya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era walibaawo enkalakkalira mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya: okutya Mukama bwe bugagga bwe.