Isaiah 33:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, abazira baabwe bakungubagira mu nguudo; ababaka b'emirembe bakaaba n'okunyolwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, abazira baabwe bakaabira bweru; ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe, abazira baabwe bakaabira bweru; ababaka abatumiddwa okuteesa wabeewo emirembe, bakaaba nnyo amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abazira baabwe bakaabira bweru: ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga.