Isaiah 33:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amakubo gafudde, tewakyali bayita mu nguudo; endagaano emenyeddwa; abajulirwa banyoomeddwa, tewali afiibwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enguudo ennene tezitambulirwako, tewali azitambulirako. Endagaano yamenyebwa, n’abajulizi baayo banyoomebwa, tewali assibwamu kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo; amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezo enguudo temukyayitika. Abaziyitamu baggwaawo, endagaano zimenyeddwa, ebibuga binyoomeddwa, tewali assibwamu kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo: amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu.