Isaiah 33:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ekungubaga, eyongobedde; Lebanoni aswadde, awotookeredde; Saroni afuuse nga Araba; Basani ne Karumeli bawaatudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ekungubaga era eyongobera, Lebanooni aswadde era awotose; Saloni ali ng’eddungu, ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ewuubaala eyongobera; Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka; Saloni ali ng'eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi tekyalimwa, erekeddwa awo. Ebibira bya Lebanooni biwotose. Ekiwonvu Saroni ekigimu, kaakano kiri nga ddungu. Mu Basani ne ku Lusozi Karumeeli emiti giwaatudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ewuubaala eyongobera: Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka: Saloni ali ng'eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula.