Isaiah 34:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musembere kumpi, mmwe amawanga, mutegereze, mmwe abantu, mutege okutu. Ensi ewulire, na buli kyonna ekigijjuzizza; amawanga g'ensi, na buli kyonna ekigisibukamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musembere mmwe amawanga muwulirize. Musseeyo omwoyo mmwe abantu. Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu, ensi ne byonna ebigivaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu, ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musembere kumpi mmwe abantu ab'amawanga gonna, mutege amatu gammwe muwulire. Ensi n'ebigirimu byonna, bitegereze, biwulirize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.