Isaiah 34:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tegenda kuzikira ekiro n'emisana; omukka gwayo gulitumbiira emirembe n'emirembe. Okuva ku zzadde erimu okutuusa ku ddala erisigala matongo; tewaliba addamu kugiyitamu emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Talizikizibwa emisana n’ekiro, n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna. Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe, era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna. emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisana n'ekiro teriizikirenga, linaanyookanga omukka ennaku zonna. Ensi eyo erizika emirembe n'emirembe era teeyitibwengamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna: emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.