Isaiah 34:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwuugulu eby'amatu ne nnamunnungu birigifuula yaabyo; amakufufu ne nnamuŋŋoona binaasulanga omwo; Omukama ajja kugikubako olukoba olupima olw'obutabanguko, n'akaliiso ak'obutabaamu nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu. Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo. Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika, n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne nnamuŋŋoona be banaatuulanga omwo; era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu yo, kimbala ne nnamunnungu bye birifuuka nnyinimu; ne nnamuŋŋoona n'ebiwuugulu bye binaagibeerangamu. Mukama aligiteekamu okutabukatabuka era aligifuula etekyalimu mugaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne namuŋŋoona be banaatuulanga omwo: era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.