Isaiah 34:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Maggwa ge galimera mu mbiri zaayo; ne kamyu n'amatovu mu bigo byayo; erifuuka nfo ya bibe na kisulo kya maaya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye, n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa. Aliyiggibwa ebibe, era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo; era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amayumba gaayo galimeramu amaggwa; n'ebigo byayo ebigumu bimeremu emyeramannyo n'amatovu, era binaabeerangamu bibe na mmaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo: era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya.