Isaiah 34:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ekiwuugulu gye kirizimba ekisu kyakyo ne kibiikirayo amagi; kirigaalula ne kibikkirira obwana bwakyo mu kisiikirize kyakyo; era eyo ensega gye zirikuŋŋaanira, buli emu ne ginnaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi, ne kigaalula, ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo. Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo; weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ebiwuugulu gye birikola ebisu byabyo ne bibiika, ne bimaamira, ne byalulirayo era ebito ne bikulira eyo. Ne bikamunye binaakuŋŋaanirangayo ebisajja okusisinkana ebikazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo: weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne.