Isaiah 34:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munoonyereze, musome mu kitabo ky'Omukama: Ku bino tewali na kimu kiribulayo, tewali kiribulwako kinnaakyo, kubanga akamwa ke ke kalagidde, era Mwoyo we y'alibikuŋŋaanya awamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tunula mu muzingo gwa Mukama osome. Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo, era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume. Akamwa ka Mukama ke kalagidde, era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munoonye mu kitabo kya Mukama musome; tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'Omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munoonye mu kitabo kya Mukama, musomemu mulabe nga tekulibula na kimu ku bitonde ebyo, era tewaliba kisajja kitalina kinnaakyo ekikazi, kubanga Mukama ye yalagira bibeere bwe bityo, era Mwoyo we y'abikuŋŋaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munoonye mu kitabo kya Mukama musome: tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.