Isaiah 34:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abikubidde akalulu; omukono gwe gubipimidde ebitundu byayo ku lukoba olupima; birigifuula yaabyo emirembe gyonna; biribeeranga omwo emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agabira buli kimu omugabo gwakyo, era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera. Birikibeeramu ennaku zonna, bibeere omwo emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gugigabanyiza n'omugwa; binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye abigabanyizaamu ensi eyo, n'abisimbira empaanyi ez'ebitundu byabyo. Ensi eyo eriba yaabyo ennaku zonna binaagibeerangamu ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gubigabidde n'omugwa: binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.