Isaiah 34:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ekitala kyange kinywedde mu ggulu ne kikkuta; laba, kikka okusalira Edomu omusango, ku bantu be nsalidde okuzikirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu, era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango, abantu be mmaliddewo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu; laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama gy'ali mu ggulu, ategese ekitala kye kikke ku Edomu, kitte bonna b'akolimidde era b'asalidde ogw'okuzikirizibwa. Ob 1-14; Mal 1:2-5
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.