Isaiah 34:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitala ky'Omukama kibunye omusaayi, kivulubanye amasavu, omusaayi gw'obuliga n'ogw'embuzi ennume, amasavu g'ensigo z'endiga. Kubanga Omukama agenda kutambira e Bozura, alina okusanjaga okunene mu Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi, kiriko amasavu, omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi, amasavu agava mu nsingo za sseddume. Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula, era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kiriko amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume. Kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitala kya Mukama kirivulubana omusaayi n'amasavu eby'abantu, nga bwe kyandivulubanye omusaayi n'amasavu eby'endiga n'embuzi ento, n'eby'ensigo z'endiga ennume ezimutambirirwa, kubanga Mukama alina okutambira e Bozura n'okutta abantu abangi mu nsi ya Edomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kisavuwadde n'amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume: kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.