Isaiah 34:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emigga gya Edomu gijja kufuuka nvumbo, enfuufu yaayo efuuke bibiriiti ebyaka, ettaka lyayo lifuuke envumbo eyaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo, n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya. Ensi ye erifuuka ng’obulimbo obuggya omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emigga gyayo girifuuka lunyata, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka lunyata olw'okya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emigga gya Edomu girijjula ebyokya ng'olunyata. Ettaka lyayo liribikkibwako amanda agakoledde omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emigga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka.