Isaiah 35:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanunule b'Omukama balikomawo, baliyingira mu Siyoni nga bayimba, essanyu ery'olubeerera nga balyetisse ku mitwe gyabwe; balifuna okujaganya n'essanyu; ennaku n'okusinda biriddukira wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda biriddukira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aba Mukama abaguliddwa balikomawo e Siyooni nga bayimba. Baliba mu ssanyu ennaku zonna. Balisanyuka ne bajaguza, era okunakuwala n'okusinda, kuliggweerawo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe: balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda kuliddukira ddala.