Isaiah 35:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eryanyiza ddala; erijaganya n'esanyuka. Eriweebwa ekitiibwa kya Lebanoni, n'obuyinza bwa Karumeli ne Saroni; baliraba ekitiibwa ky'Omukama, obuyinza bwa Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
birimeruka, birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, ekitiibwa kya Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n'essanyu n'okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddungu liriyimba, ne lireekaana olw'essanyu. Lirirabika bulungi nga lisanyusa, ng'ensozi za Lebanooni. Liriba ggimu ng'ennimiro ez'e Karumeeli ne Saroni. Bonna baliraba ekitiibwa kya Mukama, baliraba amaanyi n'obuyinza ebya Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n'essanyu n'okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni: baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe.