Isaiah 35:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ab'emitima emitiitiizi mubagambe nti: “Mugume, muleke kutya. Wuuno Katonda wammwe ajja okuwoolera eggwanga; aleeta empeera ya Katonda, ajja kujja okubawonya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere n’amaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, era alibalokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugambe abo abalina omutima omuti nti, “Mubeere n'amaanyi, temutya,” laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugambe abo abaterebuse nti: “Mugume, temutya. Mulabe, Katonda wammwe ajja okubataasa, n'okubonereza abalabe bammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola.