Isaiah 35:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo omulema alyebuukiza ng'akaweewo n'olulimi lwa kasiru luliyimba n'essanyu. Amazzi galifumbukula mu lukoola, n'emigga mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omulema alibuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi, n'olulimi lwa kasiru luliyimba; kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n'emigga mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo awenyera alibuuka ng'ennangaazi ne kasiru aliyimba, kubanga emigga gy'amazzi girikulukutira mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi, n'olulimi lwa kasiru luliyimba: kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n'emigga mu ddungu.