Isaiah 35:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenyu ogwokya gulifuuka kidiba, n'ettaka erirakasidde liripukula ensulo z'amazzi; awaali obuwummuliro bw'ebibe walimera muddo, biwuuwa na bitoogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, n’essaalu, n’ebitoogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n'ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi; mu kifo eky'ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n'essaalu n'ebitoogo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusenyu ogwokya mu ddungu gulifuuka ekiyanja, n'ensi enkalu erakasidde erijjamu ensulo z'amazzi. Ekifo ebibe mwe byagalamiranga, kirimeramu omuddo, n'essaalu n'ebitoogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n'ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi: mu kifo eky'ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n'essaalu n'ebitoogo.
Recommended Reading