Isaiah 35:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo walibaawo oluguudo olunene, luliyitibwa: 'Oluguudo Olutukuvu'; abatali balongoofu tebalirutambulirako __ yekka y'aliba ow'okutambulira ku Luguudo luno__ n'ababuyabuya tebalirubungeeteramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba ly’abali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walitemwayo oluguudo, lube ekkubo eriyitibwamu. Luliyitibwa “Kkubo Ttukuvu.” Teririyitibwamu batali balongoofu. Abalitambuliramu, wadde nga basiru, tebaliriwabiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali: abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.