Isaiah 35:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teriba mpologoma, yadde ensolo enkambwe yonna okululinnyamu; ensolo tezirisangwako, naye abanunule be balirutambulirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu, tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewalibaayo mpologoma. N'ensolo enkavvuzi teriyita mu kkubo eryo, naye abo Mukama b'anunudde be baliritambuliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu, tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu: