Isaiah 36:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Kezekiya, Sennakeribu kabaka wa Assuri yalumba ebibuga byonna ebya Yuda okuli n'ebigo, n'abiwamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogw'obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n'abiwamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, mu mwaka ogw'ekkumi n'ena nga Heezeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera, n'abimenya.