Isaiah 36:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olowooza nze okujja mu kifo kino nkisaanyeewo Omukama tamaze kuŋŋamba? Omukama yennyini y'aŋŋambye nnumbe ensi eno ngisaanyeewo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga Mukama si y’andagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano olowooza nga nnumbye ensi eno okugizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti: ‘Lumba ensi eyo ogizikirize.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize.