Isaiah 36:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliyakimu mutabani wa Kilukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba omusenero omukulu nti: “Tukwegayiridde, yogera n'abaweereza bo mu Lwarami, kasita tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng'abantu abali ku bbugwe bawulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti “Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi, so toyogera naffe mu lulimi Oluyudaaya nga abantu abali ku bbugwe bawulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliyakimu ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulumanyi, naye toyogera naffe mu lwaffe Olwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.