Isaiah 36:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'ayanukula nti: “Olowooza mukama wange yantumye njogere ebigambo bino eri mukama wo n'eri ggwe wekka? Teyantumye n'eri abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, okufaanana nga ggwe aboolekedde okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Labusake n'ayogera nti, “ Olowooza Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? Tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange antumye kubuulira mukama wammwe, nammwe mwekka ebigambo bino? Antumye kubuulira n'abasajja abo abali ku kigo ky'ekibuga, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe, n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Labusake n'ayogera nti Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo, n'okunywa enkali yaabwe bo awamu nammwe?