Isaiah 36:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'ayimirira, n'aleekaana n'eddoboozi eddene mu Luyudaaya n'agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi Oluyudaaya n'ayogera nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukungu oyo n'ayimirira n'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olwebureeyi nti: “Muwulire kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya ky'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli.