Isaiah 36:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya aleme na kubakkirizisa kwesiga Mukama ng'agamba nti: “Omukama mazima anaatuwonya; ekibuga kino tekijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wa Assuri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘ Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya tabasigula ng'abagamba nti, ‘Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era aleme kubasendasenda kwesiga Mukama, ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya, n'ekibuga kino tekiiweebweyo mu mikono gya kabaka wa Assiriya.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so Keezeekiya tabasigulanga eri Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.