Isaiah 36:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kuwuliriza Kezekiya.’ Kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Mukkaanye, muveeyo mujje gye ndi; olwo buli omu ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mukunyu gwe, anywe amazzi ng'agaggya mu nzizi ze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti, Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lwalirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli muntu alinywa ku mazzi ag'omu kidiba kye ye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuwuliranga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi; mulyenga buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era munywenga buli muntu ku mazzi ag'omu kidiba kye ye: