Isaiah 36:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kuwuliriza Kezekiya oyo abalimbalimba ng'agamba nti: “Omukama anaatulokola.” Waali wabaddewo lubaale w'eggwanga lino oba liri eyali awonyezza abantu be mu mikono gya kabaka wa Assuri?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘ Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti, Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwegendereze, Heezeekiya aleme kubaguyaaguya ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya. Waliwo lubaale n'omu mu balubaale b'amawanga, eyali asobodde okuwonya ensi ye, n'agiggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?