Isaiah 36:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balubaale b'e Kamati ne Arupadi bali ludda wa? Balubaale b'e Sefaruvayimu bali ludda wa? Balubaale b'omu Samariya bali ludda wa? Samariya baakiwonya mu mikono gyange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? Baawonya Samaliya mu mukono gwange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bali ludda wa balubaale ba Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu? Balubaale ba Samariya baakiwonya ne bakiggya mu mikono gyange?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? era baawonya Samaliya mu mukono gwange?