Isaiah 36:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka wa Assuri n'asindika okuva e Lakisi omusenero omukulu ng'ali n'eggye ddene ewa Kezekiya mu Yeruzaalemu. N'ayimirira okumpi n'olusalosalo lw'amazzi olw'Ekidiba eky'Engulu ekiri ku kkubo eriraga ku Nnimiro y'Omwozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'asindika Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggye eddene. N'ayimirira ku mabbali g'omukutu gw'amazzi omunene eky'engulu ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Assiriya oyo n'alagira omukungu we omukulu, ave e Lakisi ng'alina eggye eddene, agende e Yerusaalemu eri Kabaka Heezeekiya. Omukungu oyo bwe yatuukayo, n'agumba mu luguudo ku mabbali g'omukutu gw'ekidiba eky'engulu, awali ekifo ky'omwozi w'engoye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w’e Bwasuli n'agaba Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggy'e eddene. N'ayimirira ku mabbali g'olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu mu luguudo olw'ennimiro ey'omwozi.