Isaiah 36:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baluwa balubaale b'ensi eno oba eri abaali baggye ensi yaabwe mu mikono gyange? Olwo nno n'Omukama lw'anaggya Yeruzaalemu mu mikono gyange?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi zaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke awonye Yerusaalemi mu mukono gwange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baani ku balubaale bonna ab'ensi ezo, abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu okukiggya mu mikono gyange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?