Isaiah 36:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri wamu ne Kezekiya, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bagenda ewa Kezekiya ng'ebyambalo babiyuzizza, ne bamubuulira omusenero omukulu by'agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu, era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.