Isaiah 36:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bafuluma okubasisinkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bafuluma okumusisinkana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu basatu Abayudaaya, Eliyakimu mutabani wa Hilukiya eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi mu lubiri, ne Yoowa, mutabani wa Asafu, eyali omukuumi w'ebiwandiiko, ne bajja okumusisinkana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bafuluma ne bajja gy'ali Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza.