Isaiah 36:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'abagamba nti: “Mugambe Kezekiya nti: Kabaka omukulu, kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Weesiga ki ekyo ekikuyinula?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labusake n’abagamba nti, “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti, “Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Kiki kye weesiga?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukungu oyo Omussiriya n'abagamba nti: “Kaakano mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya akubuuza nti kiki kye weesiga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Bwesige ki buno bwe weesiga?